Isaiah 65:13-15

13 aNoolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:

“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 bAbaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 cEkikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
Copyright information for LugEEEE